Genesis 32:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'asigala bw'omu. Ne wabaawo omusajja, n'ameggana naye okutuusa ku mmambya ng'asala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, n’akoma ku kinywa ky’ekisambi kye. Yakobo n’atandika okuwenyera nga bw’ameggana n’omusajja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja bwe yalaba nga tajja kumegga Yakobo, n'amukoma ku bbunwe; bbunwe wa Yakobo n'anuuka ng'ameggana naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja bwe yalaba nga tajja kumegga Yakobo, n'amukoona ku bbunwe, bbunwe wa Yakobo n'awogoka ng'ameggana naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe yalaba nga tajja kumumegga, n'akoma ku mbalakaso ye; embalakaso ya Yakobo ne yeereega, ng'ameggana naye.