Genesis 32:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja yalaba amulemeddwa, n'akoona ku nteeko ya bbunwe, amangu ago bbunwe wa Yakobo n'anuuka bwe yali ameggana n'oli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja n’alyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.” Naye Yakobo n’ayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba Yakobo nti, “Nta ŋŋende, kubanga emmambya esala.” Yakobo n'ayogera nti, “Sijja kukuta, wabula ng'ompadde omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Yakobo nti: “Nta ŋŋende, kubanga emmambya esala.” Yakobo n'agamba nti: “Sijja kukuta wabula ng'ompadde omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Nta, kubanga emmambya esala. N'ayogera nti Sijja kukuta, wabula ng'ompadde omukisa.