Genesis 32:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” N'ayanukula nti: “Yakobo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Erinnya lyo terikyali Yakobo, wabula onooyitibwanga Isiraeri, kubanga owakanye ne Katonda, n'abantu, era owangudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'agamba nti: “Tokyayitibwanga Yakobo, wabula YISIRAYELI, kubanga omegganye ne Katonda era n'abantu, era owangudde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Erinnya lyo terikyayitibwanga Yakobo, wabula Isiraeri: kubanga owakanye ne Katonda era n’abantu, era osinze.