Genesis 32:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ko oli nti: “Erinnya lyo tokyayitibwanga Yakobo, wabula Yisirayeli, kubanga omegganye ne Katonda n'abantu n'owangula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo n’amuwa omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'amugamba nti, “Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo.” Omusajja n'addamu nti, “Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange?” N'amuweera mu kifo ekyo omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo.” Naye oli n'addamu nti: “Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange?” N'aweera Yakobo omukisa mu kifo ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'amubuuza n'ayogera nti Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo. N'ayogera nti Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange? N'amuweera eyo omukisa.