Genesis 32:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'amubuuza nti: “Mbuulira: erinnya bakuyita ani?” N'ayanukula nti: “Lwaki obuuza erinnya lyange?” N'amuwa omukisa awo wennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ng’agamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Penueri, ng'agamba nti, “Ndabaganye ne Katonda maaso n'amaaso ne nsigala nga ndi mulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Penweli, ng'agamba nti: “Ndabaganye ne Katonda maaso na maaso, ne nsigala nga ndi mulamu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'atuuma ekifo erinnya lyakyo Penieri: kubanga ndabagaaye ne Katonda mu maaso, n'obulamu bwange buwonye.