Genesis 32:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'asindika ababaka bamwesooke ewa Ezawu muganda we mu nsi y'e Seyiri mu Edomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abalagira nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti Yakobo omuweereza wo agamba nti, ‘N'abeeranga ne Labbaani, era mbadde naye okutuusa kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abalagira nti: “Mugambe mukama wange Esawu nti Yakobo omuweereza wo agamba nti: ‘Nabeeranga ne Labani, era mbadde naye okutuusa kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abalagira ng'ayogera nti Bwe muti bwe muligamba mukama wange Esawu; nti Bw'ati bw'ayogera omuddu wo Yakobo nti Natuulanga ne Labbaani, ne mbeerayo okutuusa kaakano: