Genesis 32:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abalagira nti: “Mukama wange Ezawu bino bye muba mumugamba, nti: ‘Omuweereza wo Yakobo akugambye nti: “Mbadde mbeera wa Labani, gye ndudde n'okutuusa kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
alina ente, n’endogoyi, n’endiga era n’embuzi, abaweereza abakazi era n’abasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nnina ente n'endogoyi n'ebisibo by'endiga n'embuzi, abaddu n'abazaana. Nkutumidde okukutegeeza mukama wange, onkwatirwe ekisa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nnina ente n'endogoyi n'amagana g'endiga n'embuzi, n'abaddu n'abazaana. Era ntumye okukutegeeza mukama wange, olyoke onkwatirwe ekisa.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nnina ente n'endogoyi, n'ebisibo, n'abaddu n'abazaana: era ntumye okubuulira mukama wange, ndabe ekisa mu maaso go.