Genesis 32:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababaka ne bakomawo eri Yakobo, ne bamugamba nti: “Tutuuse eri Ezawu muganda wo, wuuyo ajja okukusisinkana; ajja n'abasajja ebikumi bina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo Yakobo n’atandika okutiira ddala, n’asoberwa. N’ayawulamu abantu be yali nabo, n’ayawulamu n’endiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'alyoka atya nnyo ne yeeraliikirira. N'ayawulamu ebibinja bibiri mu bantu abaali naye, ne mu bisibo by'embuzi, n'endiga, n'ente, n'eŋŋamira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'atya nnyo, ne yeeraliikirira. N'ayawulamu ebibinja bibiri mu bantu abaali naye, ne mu magana g'endiga n'embuzi n'ente n'eŋŋamiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'alyoka atya nnyo ne yeeraliikirira: n'ayawulamu abantu abaali naye, n'ebisibo, n'ente, n'eŋŋamira, okuba ebibiina bibiri;