Genesis 32:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'atya nnyo, ne yeeraliikirira, n'ayawuza mu bantu abaali naye, n'endiga, amagana n'eŋŋamiya; yayawulamu ebibinja bibiri
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’alowooza nti, “Esawu bw’anaatuuka ku kibinja ekisooka n’akizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Esawu bw'anaatuukira ku kibiina ekimu n'akikuba, ekibiina ekinaasigalawo kinaawona.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Esawu bw'anaatuukira ku kibinja ekimu n'akikuba, ekibinja ekinaasigalawo kinaawona.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Esawu bw'anaatuukira ku kibiina ekimu n'akikuba, ekibiina ekinaasigalawo kinaawona.