Genesis 32:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'agamba nti: “Singa Ezawu anaalumba ekibinja ekimu, ekibinja ekirala ekinaaba kisigaddewo kinadduka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'ayogera nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ayi Mukama, eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange nnaakukolanga bulungi,’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo n'agamba nti: “Ayi Katonda wa jjajjange Aburahamu, era Katonda wa kitange Yisaaka, ayi Mukama ggwe eyaŋŋamba nti: ‘Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, ndikuluŋŋamiza buli kintu,’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'ayogera nti Ai Katonda wa jjajja wange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ai Mukama, eyaŋŋamba nti Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange naakukolanga bulungi: