Genesis 33:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo bwe yasitula amaaso, laba n'alaba Ezawu. Yali ajja n'abasajja ebikumi bina; Yakobo abaana be n'agenda ng'abassa abamu ne Leya, abalala ne Rakeli n'abandi n'abaweereza baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’ayimusa amaaso ge n’alaba Esawu ng’ajja ng’ali n’abasajja ebikumi bina. Yakobo n’alyoka ayawulamu abaana abaali ne Leeya ne Laakeeri awamu n’abaweereza be abakazi ababiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Esawu ng'ajja n'abasajja bina (400). Yakobo n'agabanyaamu abaana, wakati wa Leeya ne Laakeeri, n'abazaana bombi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Esawu ng'ajja ng'ali wamu n'abasajja ebikumi bina. Yakobo n'agabanyaamu abaana, wakati wa Leeya ne Raakeeli, n'abazaana bombi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, Esawu ng'ajja, n'abasajja bina wamu naye. N'agabira abaana Leeya ne Laakeeri n'abazaana bombi.