Genesis 33:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'agamba nti: “Nkwegayiridde, nedda. Obanga nsanze ekisa mu maaso go, ekirabo kyange kiggye mu mikono gyange okitwale; mu mazima nze okulaba amaaso go, mbadde ng'alabye amaaso ga Katonda, omaze n'onsanyukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’amuddamu nti, “Nedda nkwegayiridde, obanga nfunye okusaasirwa mu maaso go, kale kkiriza ekirabo kyange ekivudde mu ngalo zange. Kubanga ddala okulaba ku maaso go kiri ng’okulaba amaaso ga Katonda, olw’ekisa ekyo ky’onnyaniririzzaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'ayogera nti, “Nedda, nkwegayiridde! Kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange; kubanga ndabye amaaso go, ne mba ng'omuntu bwe yandirabye amaaso ga Katonda, n'onsanyukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'agamba nti: “Nedda, nkwegayiridde! Bwe mba nga nsiimiddwa mu maaso go, kkiriza ekirabo ekiva mu ngalo zange, kubanga ndabye amaaso go, ne mba ng'omuntu bwe yandirabye amaaso ga Katonda, n'onsanyukira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'ayogera nti Nedda, nkwegayiridde, kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange: kubanga ndabye amaaso go, ng'omuntu bw'alaba amaaso ga Katonda, n'onsanyukira.