Genesis 33:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkwegayiridde, kkiriza ekirabo ekikuleeteddwa, kubanga Katonda yansaasira; nnina byonna bye neetaaga.” Yakobo bwe yamusindirira, n'akkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyange ekikuleeteddwa, kubanga Katonda andaze ekisa kye, era siri mu bwetaavu.” Bw’atyo Esawu n’akikkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala.” N'amwegayirira, Esawu n'akitwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyonna kye nkuleetedde, kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, n'ampa byonna bye neetaaga.” N'amwegayirira, Esawu n'akkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala. N'amwegayirira, n'akitwala.