Genesis 33:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'agamba nti: “Mukama wange, omanyi nnina abaana abakyali abato, nnina endiga n'ente eziyonsa; bwe zinaagobwa ekiyitiridde, ne bwe lunaaba lunaku lumu luti, eggana lyonna lijja kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Mukama wange amanyi nti abaana banafu, era n’ebisibo biyonsa, era singa bitambuzibwa awatali busaasizi bijja kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'addamu nti, “Mukama wange omanyi ng'abaana bakyali bato, tebannafuna maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange, ziyonsa. Bwe banaazigoba ennyo, wadde olunaku olumu, amagana gonna gajja kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'addamu nti: “Mukama wange, omanyi ng'abaana bakyali bato, tebannafuna maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange, ziyonsa. Bwe banaazigoba ennyo wadde olunaku olumu, amagana gonna gajja kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Mukama wange amanyi ng'abaana tebalina maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange ziyonsa: era bwe balibigoba ennyo ku lunaku olumu, ebisibo byonna birifa.