Genesis 33:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama wange leka akulemberemu omuweereza we; nange najja mpola nga ngoberera amagana okutuukana ne bwe gasobola okwanguwa, era n'abaana abato, okutuusa lwe nnaatuuka mu Seyiri, mukama wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama wange k’aleke omuddu we, nze nzija kujja mpola, okusinziira ku ntambula y’ebisolo ebikulembedde, era ne ku ntambula y’abaana, okutuusa lwe ndituuka mu Seyiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwegayiridde, mukama wange ggwe kulembera nange omuddu wo najja mpolampola nga bwe nnaasobola okutambula, n'ensolo ze nkulembezzaamu era n'abaana, nkutuukeko mu Seyiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwegayiridde mukama wange, ggwe kulembera, nange omuweereza wo, najja mpolampola nga bwe nnaasobola okutambula n'ensolo ze nkulembezzaamu era n'abaana, nkutuukeko mu Seyiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkwegayiridde, mukama wange akulembere omuddu we: nange naagenda mpola, ng'okutambula kw'ensolo eziri mu maaso gange era ng'okutambula kw'abaana bwe kuli, ntuuke awali mukama wange mu Seyiri.