Genesis 33:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezawu n'ayanukula nti: “Nkwegayiridde, ka nkulekere abamu ku bantu be ndi nabo.” Yakobo n'agamba nti: “Lwaki ate? Singa nno nsanze ekisa mu maaso go.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Esawu n’agamba Yakobo nti, “Kale ka ndeke abamu ku basajja abali nange.” Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Tekyetaagisa. Kale nsaba ekisa mu maaso ga mukama wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Esawu n'agamba nti, “Kale ka nkulekere ku bantu abali nange.” Kyokka Yakobo n'agamba nti, “Ekyo tekyetaagisa, bwe mba nga ndabye ekisa mu maaso go Mukama wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Esawu n'agamba nti: “Kale ka nkulekere ku bantu abali nange.” Kyokka Yakobo n'agamba nti: “Ekyo tekyetaagisa, bwe mba nga nsiimiddwa mu maaso go, mukama wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Esawu n'ayogera nti Ka nkulekere kaakano ku bantu abali nange. N'ayogera nti Si nsonga: ndabe ekisa mu maaso ga mukama wange.