Genesis 33:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agulawo ekitundu ky'ettaka mwe yali atadde weema ye; yakigula ku batabani ba Kamori kitaawe wa Sekemu; yasasula ebitundu bya ffeeza kikumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ne bamuguza ekitundu mwe yasiisira, n’abasasula ebitundu bya ffeeza kikumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agula ettaka ku baana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, ebitundu bya feeza kikumi (100), n'asimba eweema ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agula ettaka ku bazzukulu ba Hamori kitaawe wa Sekemu, ebitundu kikumi ebya ffeeza, n'asimba eweema ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agula ekibanja, gye yasimba eweema ye, mu mukono gw'abaana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, n'ebitundu by'effeeza kikumi.