Genesis 33:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye muganda we Ezawu n'addukanako okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amuwambaatira, n'amunywegera, ne bakaaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Esawu n’adduka okumusisinkana, n’amulamusa ng’amugwa mu kifuba n’amunywegera; bombi ne bakaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Esawu n'adduka mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu ngalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, ne bakaaba amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Esawu n'adduka okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amuwambaatira, n'amunywegera, bombi ne bakaaba amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Esawu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu ngalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera: ne bakaaba amaziga.