Genesis 33:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezawu bwe yasitula amaaso n'alaba abakazi n'abaana baabwe n'agamba nti: “Bano baani abali naawe?” N'ayanukula nti: “Be baana, Katonda be yawa omuweereza wo olw'ekisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Esawu bwe yayimusa amaaso ge n’alaba abakazi n’abaana, n’abuuza Yakobo nti, “Bano baani abali naawe?” Yakobo n’amuddamu nti, “Be baana Katonda baawadde omuddu wo mu kisa kye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Esawu bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba abakazi n'abaana, n'abuuza nti, “Baani bano abali naawe?” Yakobo n'addamu nti, “Abo be baana, Katonda olw'ekisa kye be yawa omudduwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Esawu bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba abakazi n'abaana, n'abuuza nti: “Baani bano abali naawe?” Yakobo n'addamu nti: “Abo be baana, Katonda olw'ekisa kye be yawa omuweereza wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayimusa amaaso ge, n’alaba abakazi n’abaana; n'ayogera nti Baani bano abali naawe? N'ayogera nti Abo be baana Katonda be yawa omuddu wo olw'ekisa.