Genesis 34:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Sekemu n'agamba kitaawe w'omuwala ne bannyina nti: “Obanga nsanze ekisa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nzija kukiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sekemu naye n’ayogera ne Yakobo ne bannyina ba Dina, nti, “Nsaba ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kyonna kye munansalira nzija kukibawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sekemu n'agamba kitaawe wa Dina ne bannyina nti, “Singa ndabye ekisa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nnaakibawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sekemu n'agamba kitaawe wa Dina ne bannyina nti: “Singa nsiimibwa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nnaakibawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sekemu n'agamba kitaawe ne baganda be nti Ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kye munansalira kye nnaabawa.