Genesis 34:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutwalo musale munene gutya, n'ebirabo bingi nga bwe mwagala, nzija kubiwa, ekikulu mumpe omuwala ono abeere mukazi wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munsabe ebyobuko ebirabo n’ebigenderako, byonna nzija kubibawa nga bwe binaaba binsabiddwa; kye muba munkolera kwe kumpa omuwala abeere mukazi wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu eby'obuko n'ebirabo bye munansalira, ne bwe binenkana wa obungi, nnaabibawa, kasita munaampa omuwala okumuwasa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu eby'obuko, n'ebirabo bye munansalira, ne bwe binenkana wa obungi, nnaabiwa, kasita mumpa omuwala okumuwasa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eby'obuko n'ekirabo bye munansaba bwe binenkana wonna, nange naabawa bwe ntyo nga bwe munaŋŋamba: naye mumpe omuwala okumuwasa.