Genesis 34:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Yakobo ne baanukula Sekemu ne Kamori kitaawe nga balimbalimba, kubanga yali agwagwawazza Dina mwannyinaabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Kamoli nga babakwenyakwenya kuba Sekemu yali asobezza ku mwannyinaabwe Dina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne Kamoli kitaawe nga bakuusa, kubanga yali agwagwawazizza Dina mwannyinaabwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Hamori nga bakuusa, kubanga Sekemu yali asobezza ku Dina mwannyinaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne Kamoli kitaawe nga bakuusa ne boogera, kubanga yali agwagwawazizza Dina mwannyinaabwe,