Genesis 34:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne babagamba nti: “Tetusobola kukola kye musaba: okuwa mwannyinaffe omusajja atali mutayirire, ffe kitwenyinyaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babagamba nti, “Ekyo tetusobola kukikola okuwa mwannyinaffe omuntu atali mukomole, kubanga kya muzizo gye tuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne babagamba nti, “Tetuyinza kukola kino, okuwa mwannyinaffe omusajja atali mukomole; kubanga ekyo kyandibadde kya nsonyi gyetuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Tetuyinza kukola ekyo: okuwa mwannyinaffe omusajja atali mukomole, kubanga ekyo kyandibadde kya nsonyi gye tuli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne babagamba nti Tetuyinza kukola kino, okumuwa mwannyinaffe atali mukomole; kubanga ekyo kyandibadde nsonyi gye tuli: