Genesis 34:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tusobola okukkiriza kye musaba, singa munaafaanana nga ffe: buli musajja yenna mu mmwe n'atayirirwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kye muteekwa okukola, tulyoke tukkirize, kwe kufuuka nga ffe nga buli musajja mu mmwe akomolebbwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tunaabakkiriza lwa kino kyokka: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mummwe okukomolebwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tunaabakkiriza lwa kino kyokka: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mu mwe okukomolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
endagaano eno yokka ye ejja okubatukkirizisa: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mummwe okukomolebwanga;