Genesis 34:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo tunaabawa bawala baffe naffe ne tutwala bawala bammwe; tunaasenga mu mmwe, ne tubeera eggwanga limu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tulyoke tubawe bawala baffe, era naffe tuwase bawala bammwe, tubeere mu mmwe tufuuke eggwanga limu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwo tunaabawanga abawala baffe, naffe tunaawasanga abawala bammwe, naffe tunaatuulanga wamu nammwe, era tulifuuka ggwanga limu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo tunakkiriza okubawanga abawala abaffe, naffe okuwasanga abawala abammwe. Tunaabeeranga wamu nammwe, ne tufuuka eggwanga limu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne tulyoka tubawanga abawala baffe, naffe tunaawasanga abawala bammwe, naffe tunaatuulanga wamu nammwe, era tulifuuka ggwanga limu.