Genesis 34:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuvubuka teyalonzalonza kutuukiriza kimusabiddwa anti nga muwala wa Yakobo amusanyusa, ate naye yali muvubuka asinga okussibwamu ekitiibwa mu nnyumba ya kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omuvubuka teyalwa kukomolebwa, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo ye yali asinga okussibwamu ekitiibwa mu baana ba Kamoli bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo yalina ekitiibwa okusinga abalala bonna ab'omu nnyumba ya kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo, yalina ekitiibwa okusinga abalala bonna ab'ennyumba ya kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yasanyukira omuwala wa Yakobo: era yalina ekitiibwa okusinga ennyumba yonna eya kitaawe.