Genesis 34:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abasajja bano bakolagana bulungi naffe; katubaleke basenge mu nsi, basuubulire omwo, ensi yiino ngazi ekimala; bajja kuwasa bawala baffe, naffe tuwase abaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abo mikwano gyaffe. Ka babeere mu nsi yaffe bakoleremu, kubanga, mulabe, ensi nnene ebamala. Ffe ka tuwase bawala baabwe era naffe tubawe bawala baffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Abasajja abo, tebaagala kutulwanyisa. Tubaleke babeerenga mu nsi eno wamu naffe, era basuubulirengamu, kubanga ensi ngazi ekimala. Ffe tuwasenga abawala baabwe, era nabo tubawenga abawala baffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abasajja abo, tebaagala kutulwanyisa. Tubaleke babeerenga mu nsi eno wamu naffe, era basuubulirengamu, kubanga ensi ngazi ekimala. Ffe tuwasenga abawala abaabwe, nabo tubawenga abawala abaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nti Abasajja abo tebaagala kulwana naffe; kale batuulenga mu nsi bagulenga omwo; kubanga, laba, ensi ngazi, eribamala; ffe tuwasenga abawala baabwe, era tubawenga bo abawala baffe,