Genesis 34:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka abasajja bano okusobola okukkiriza okusigala naffe tufuuke ggwanga limu, batwagaza abasajja bonna okutayirirwa nga bo bwe bakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula buli musajja mu ffe ateekwa okukomolebwa, nga bo bwe bakola; tufuuke eggwanga limu, lwe banakkiriza okubeera mu ffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endagaano eno yokka ye ejja okubakkirizisa abasajja abo okutuula awamu naffe, okufuuka eggwanga erimu naffe, singa buli musajja muffe anaakomolebwanga nga bo bwe bakomolebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abasajja abo, bajja kukkiriza okubeeranga awamu naffe, okufuuka eggwanga erimu naffe, lwa kino kyokka: buli musajja mu ffe bw'anaakomolebwanga nga bo bwe bakomolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endagaano eno yokka ye ejja okubakkirizisa abasajja abo ffe okutuula nabo, okufuuka eggwanga erimu, buli musajja mu ffe bw'alikomolebwa, nga bo bwe bakomolebwa.