Genesis 34:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannansi b'omu kibuga bonna ne basemba ekiteeso kya Kamori ne mutabani we Sekemu; abasajja bonna ab'omu kibuga ne batayirirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna abaali ku mulyango ebweru w’ekibuga ne bakkiriziganya ne Kamoli ne mutabani we Sekemu; buli musajja eyafuluma ebweru w’omulyango gw’ekibuga n’akomolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja bonna abaali mu wankaaki w'ekibuga, ne bakkiriza ebya Kamoli ne Sekemu mutabani we; buli musajja n'akomolebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja bonna abaaliwo ku mulyango gw'ekibuga, ne bakkiriza ebya Hamori ne Sekemu mutabani we, buli musajja n'akomolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Kamoli ne Sekemu omwana we bonna abaavanga mu wankaaki w'ekibuga kye ne babawulira; buli musajja n'akomolebwa, buli eyavanga mu wankaaki w'ekibuga.