Genesis 34:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ku lunaku olwokusatu, bwe baali nga balumizibwa, batabani ba Yakobo Simewoni ne Leevi bannyina Dina, ne bakwata ebitala, ne bayingira mirembe mu kibuga, ne batta abasajja bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ennaku ssatu, nga bakyali mu bulumi, batabani ba Yakobo: Simyoni ne Leevi bannyina Dina ne baddira ebitala byabwe ne balumba ekibuga, abaamu nga tebategedde, ne batta buli musajja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, bwe baali nga balumwa ebiwundu, batabani ba Yakobo babiri, Simyoni ne Leevi, bannyina Dina, ne bakwata ebitala byabwe, ne bazinduukiriza ekibuga ne batta abasajja bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ku lunaku olwokusatu, abasajja bwe baali nga balumwa ebiwundu, batabani ba Yakobo babiri, Simyoni ne Leevi bannyina ba Dina, ne bakwata ebitala byabwe, ne bazinduukiriza ekibuga ne batta abasajja bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, bwe baali nga balumwa, abaana ba Yakobo ababiri, Simyoni ne Leevi, bannyina Dina, ne baddira buli muntu ekitala kye, ne bazinduukiriza ekibuga, ne batta abasajja bonna.