Genesis 34:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Yakobo ne bagwa ku mirambo gy'abattibwa, ekibuga ne bakyaya okuwoolera eggwanga olwa mwannyinaabwe eyagwagwawazibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo batabani ba Yakobo ne bagwa ku munyago ne banyaga ekibuga olwa mwannyinaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Yakobo abalala bwe basanga nga babasse, ne banyaga eby'omu kibuga nga beesasuza olwa mwannyinaabwe gwe baagwagwawaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Yakobo abalala bwe baasanga nga babasse, ne banyaga eby'omu kibuga nga beesasuza olwa mwannyinaabwe eyasobezebwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Yakobo ne babasanga nga babasse, ne banyaga ekibuga, kubanga baagwagwawaza mwannyinaabwe.