Genesis 34:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'agamba Simewoni ne Leevi nti: “Mukansombedde okunfuula ekyenyinyalwa eri Abakanaani n'Abaperizzi abali mu nsi eno. Ffe tuli batono, bali bwe baneekuŋŋaanya okunnumba, bajja kunzita, bansaanyeewo n'ennyumba yange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’agamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde akacwano, nfuuse wa kukyayibwa abantu bonna ab’omu nsi, Abakanani n’Abaperezi. Ffe tuli batono, kale bwe baneekuŋŋaanya ne bannumba nzija kumalibwawo, nze n’ennyumba yange yonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde omutawaana; okunkyayisa mu Bakanani ne mu Baperizi. Nnina abantu batono. Kale singa bali bonna balyekuŋŋaanya ne bannumba, balisaanyawo ennyumba yange yonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti: “Mundeetedde omutawaana! Kaakano Abakanaani n'Abaperizi n'abalala bonna ab'omu nsi eno bajja kunkyawa. Nnina abantu batono. Kale singa bali bonna balyekuŋŋaanya ne bannumba, balinsaanyaawo n'amaka gange gonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti Munneeraliikirizza, okumpunyisa mu abo abatuula mu nsi, mu Bakanani ne mu Baperizi: nange, kubanga omuwendo gwange mutono, balikuŋŋaana bonna okunnumba, balinkuba: nange ndizikirizibwa, nze n'ennyumba yange.