Genesis 34:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo bwe yawulira nti yagwagwawaza Dina muwala we, batabani be tebaaliwo, baali ku ttale n'amagana, n'asirika okutuusa lwe baakomawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo bwe yawulira nga Sekemu asobezza ku muwala we Dina, n’aba mukkakkamu okutuusa batabani be abaali balabirira ebisibo ku ttale lwe badda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'awulira nga Sekemu yasobya ku Dina muwala we; naye kubanga batabani be baali n'ensolo ze mu ddundiro, n'asirika okutuusa lwe badda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'awulira nga Sekemu yasobya ku Dina muwala we, naye kubanga batabani be baali n'ensolo ze mu ddundiro, n'asirika okutuusa lwe badda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'awulira nga yagwagwawaza Dina omwana we; n'abaana be baali n'ensolo ze mu ddundiro: Yakobo n'asirika okutuusa lwe badda.