Genesis 34:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
batabani ba Yakobo baali baakakomawo okuva ku ttale, bwe baawulira ekyali kiguddewo, ne banyolwa, ne basunguwala nnyo okulaba nga Sekemu yali akoze eky'obugwagwa kityo ku Yisirayeli, okwebaka ne muwala wa Yakobo, ekintu ekizira okukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Yakobo ne bakomawo eka nga bamaze okukitegeera. Ne banakuwala era ne basunguwalira nnyo Sekemu olw’okukola eky’ekivve era ekitasaana mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Yakobo ne bakomawo nga bava mu ddundiro. Bwe baakiwulira, ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga Sekemu yali akoze eky'omuzizo mu Baisiraeri, bwe yasobya ku muwala wa Yakobo, ekitagwanira kukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Yakobo ne bakomawo nga bava mu ddundiro. Bwe baakiwulira, ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga Sekemu yali akoze eky'omuzizo mu Bayisirayeli, bwe yeebaka ne muwala wa Yakobo olw'empaka, ekitagwanira kukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Yakobo ne bava mu ddundiro ne bayingira bwe baakiwulira: abasajja ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga yali akoze eky'omuzizo mu Isiraeri bwe yasula n'omwana wa Yakobo; ekitagwanira kukola.