Genesis 34:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kamori n'abagamba nti: “Omwoyo gwa Sekemu mutabani wange guggweeredde ku muwala wammwe; mbeegayiridde mumumuwe abeere mukazi we;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ye Kamoli n’ayogera nabo ng’agamba nti, “Omwoyo gwa mutabani wange gwegomba nnyo muwala wo, nkwegayirira mumuwe amuwase.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kamoli n'ayogera nabo nti, “Mutabani wange Sekemu ayagala kuwasa muwala wammwe. Mbeegayiridde mumumuwe amuwase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hamori n'ayogera nabo nti: “Mutabani wange Sekemu ayagala muwala wammwe. Mbeegayiridde mumumuwe amuwase.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kamoli n'ateesa nabo ng'ayogera nti Obulamu bw'omwana wange Sekemu bulumirwa omuwala wammwe: mbeegayirira mumumuwe okumuwasa.