Genesis 35:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amugamba nti: “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, wabula Yisirayeli lye liriba erinnya lyo; bw'atyo n'amutuuma Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, erinnya lyo linaabanga Isirayiri.” Bwe kityo erinnya lye ne liba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; naye okuva kati tokyayitibwa Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.” N'amutuuma erinnya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'amugamba nti: “Erinnya lyo ggwe Yakobo. Naye okuva kati, Yisirayeli lye linaabanga erinnya lyo.” N'amutuuma erinnya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'amugamba nti Erinnya lyo Yakobo: erinnya lyo tokyayitibwa nate Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo: n'amutuuma erinnya Isiraeri.