Genesis 35:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinza wa buli kantu. Zaala, oyale; amawanga n'amawanga galisibuka mu ggwe, bakabaka baliva mu ggwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga n’enkuyanja y’amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'amugamba nti, “Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; oyale era weeyongerenga; eggwanga n'ekibiina eky'amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinzawaabyonna. Zaala abaana bangi. Eggwanga n'ekibiina eky'amawanga birisibuka mu gwe, era oliba jjajja wa bakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna: oyale weeyongerenga; eggwanga n'ekibiina eky'amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo;