Genesis 35:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bava e Beteli. Waali wakyabulayo ebbanga okutuuka e Efurati, Rakeli n'atuuka okuzaala, ng'alumwa nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baava e Beseri, era nga bakyali walako okuva Efulasi, Laakeeri n’alumwa, n’alumwa ddala nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yakobo n'ab'omu nnyumba ye ne bava e Beseri ne batambula; baali babulako katono okutuuka mu Efulasi; ebiseera bya Laakeeri eby'okuzaala ne bituuka, n'alumwa nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo n'ab'omu maka ge ne bava mu Beteli, ne batambula. Baali babulako katono okutuuka mu Efuraati, ebiseera bya Raakeeli eby'okuzaala ne bituuka, n'alumwa nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bava mu Beseri ne batambula; baali babulako ekiseera batuuke e Efulasi: Laakeeri n'ayagala okuzaala, n'alumwa nnyo.