Genesis 35:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakabirirwa ng'azaala, naye omuzaalisa n'amugamba nti: “Guma, kubanga ojja kufuna era omwana ow'obulenzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti, “Totya; kubanga kaakano onoozaala omwana ow'obulenzi omulala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti: “Totya kubanga ogenda kuzaala omwana ow'obulenzi omulala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti Totya; kubanga kaakano onoozaala omwana ow'obulenzi omulala.