Genesis 35:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'assa omukka omuvannyuma, kubanga yali afa, omwana we n'amutuuma Beni-Oni, naye kitaawe n'amutuuma Benyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwoyo bwe gwali gumuggwaamu ng’afa, n’amutuuma Benoni, naye kitaawe n’amuyita Benyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, bwe yali anaatera okufa, n'atuuma omwana we erinnya Benoni, naye kitaawe n'amutuuma Benyamini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'anaatera okufa, n'atuuma omwana erinnya Benoni. Naye kitaawe n'amutuuma Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, obulamu bwe bwali nga bunaatera okugenda (kubanga yafa), n'amutuuma erinnya Benoni: naye kitaawe n'amutuuma Benyamini.