Genesis 35:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo, n'ayita ennyumba ye yonna, n'abagamba nti: “Mweggyeko balubaale abagwira be mulina, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’agamba ab’omu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'alyoka agamba ab'omu nnyumba ye n'abo bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe, mwambale ebitukula;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo n'agamba ab'omu nnyumba ye, n'abo bonna abaali naye nti: “Muggyeewo balubaale abali mu mmwe, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe, mwambale ebiyonjo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'alyoka agamba ab'omu nnyumba ye n'abo bonna abaali naye nti Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze, muwaanyise ebyambalo byammwe: