Genesis 35:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli n'ava eyo, n'asimba weema emitala wa Migudali-Ederi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri ne yeeyongera okutambula, n’akuba eweema ye, emabega w’omunaala gwa Ederi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri ne yeyongerayo mu lugendo lwe, n'asimba eweema ye ng'ayisizza omunaala gwa Ederi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n'asimba eweema ye ng'ayisizza omunaala gwa Ederi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri n'atambula, n’asimba eweema ye ng'ayise ku kigo kya Ederi.