Genesis 35:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akyali eyo, Rubeni n'agenda ne yeebaka ne Biluwa omu ku bakazi ba kitaawe; Yisirayeli n'akimanyako. Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri bwe yali ng’ali mu nsi omwo Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biira omuweereza wa kitaawe, Isirayiri n’akiwulira. Batabani ba Yakobo baali kkumi n’ababiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yali ng'atudde mu nsi eyo, Lewubeeni n'agenda n'asula ne Bira omuzaana wa kitaawe; Isiraeri n'akimanya. Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisirayeli bwe yali ng'akyali mu nsi eyo, Rewubeeni n'agenda ne yeebaka ne Biliha omuzaana wa kitaabwe, Yisirayeli n'akimanya. Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yali ng'atudde mu nsi eyo, Lewubeeni n'agenda n'asula ne Bira omuzaana wa kitaawe: Isiraeri n'akiwulirako. Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri: