Genesis 35:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'atuuka eka ewa kitaawe Yizaake e Mamure, okumpi ne Kiriyati-Aruba, oba Keburoni; Yiburayimu ne Yizaake gye baabeeranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’ajja eri kitaawe Isaaka e Mamule, oba Kiriyasaluba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'ajja eri Isaaka kitaawe e Mamule, mu Kiriasualaba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo n'ajja eri kitaawe Yisaaka e Mamure mu kibuga Asaba, ye Heburooni, Aburahamu ne Yisaaka mwe baabeeranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'ajja eri Isaaka kitaawe mu Mamule, mu Kiriasualaba (ye Kebbulooni), Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga.