Genesis 35:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tusituke twambuke e Beteli, nzimbireyo omwaliiro Katonda eyampulira ku lunaku lw'obuyinike bwange, ankuumye mu ŋŋendo zange ze ntambudde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ez’okunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
tusituke twambuke e Beseri; nange ndizimbira eyo Katonda ekyoto, eyannyamba, mu biseera ebizibu, era eyabanga nange mu kkubo lye natambuliramu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
tusituke, twambuke e Beteli, era eyo Katonda nja kumuzimbirayo alutaari, kubanga yannyamba mu kiseera mwe nabeerera mu buzibu, era yabanga nange buli we nagendanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tugolokoke, twambuke e Beseri: nange ndizimbira eyo ekyoto eri Katonda, eyanziramu ku lunaku olw'okweraliikirira kwange, era eyabanga nange mu kkubo lye nnatambuliramu.