Genesis 35:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bawa Yakobo balubaale bonna abagwira be baali balina, n'empeta ez'oku matu gaabwe; Yakobo n'abiziika wansi w'omuvule oguli okumpi n'e Sekemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, n’empeta ezaali ku matu gaabwe; Yakobo n’abiziika wansi w’omuvule ogwali okumpi ne Sekemu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina n'empeta ezaali ku matu gaabwe; Yakobo n'abiziika wansi w'omuti omwera, ogwali mu Sekemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bawa Yakobo balubaale bonna be baalina, n'empeta ezaali mu matu gaabwe. Yakobo n'abiziika wansi w'omuti okumpi ne Sekemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna abaali mu mukono gwabwe, n'empeta ezaali mu matu gaabwe; Yakobo n'abikweka wansi w'omwera ogwali mu Sekemu.