Genesis 35:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baasitula okugenda entiisa ya Katonda n'ekwata ebibuga byonna ebyetooloddewo; ne wataba aguma kuwondera batabani ba Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali batambula, entiisa ya Katonda n’egwa ku bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batagoberera baana ba Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batambula, entiisa ennene n'ekwata ab'omu bibuga ebibeetoolodde, ne batabawondera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'abaana be bwe baatambula, entiisa ennene n'ekwata ab'omu bibuga ebibeetoolodde, ne batabawondera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batambula: n'entiisa ennyingi n'egwa ku bibuga ebyabeetooloola, ne batagoberera baana ba Yakobo.