Genesis 35:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Debora omujjanjabi wa Rebekka n'afa, n'aziikibwa wansi w'omuvule mu maserengeta ga Beteli; ekifo ekyo Yakobo n'akituuma Alloni-Bakuti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Debola omujjanjabi wa Lebbeeka n’afa n’aziikibwa wansi w’omuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Debola, omulezi wa Lebbeeka n'afa, ne bamuziika emmanga wa Beseri wansi w'omwera; ne bagutuuma erinnya Alooninakusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Debora omulezi wa Rebbeeka n'afa, ne bamuziika mu bukiikaddyo obwa Beteli, wansi w'omuti. Omuti ogwo ne bagutuuma erinnya Alooni Bakuti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Debola, omulezi wa Lebbeeka, n'afa, ne bamuziika emmanga wa Beseri wansi w'omwera: ne bagutuuma erinnya Alooninakusi.