Genesis 36:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Timuna yali mukazi omuzaana owa Elifazi mutabani wa Ezawu, eyazaalira Elifazi Amaleki. Abo be bazzukulu ba Ada muka Ezawu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erifaazi mutabani wa Esawu yalina omuzaana ayitibwa Timuna, eyamuzaalira Amaleki. Abo be baana ba Ada omukazi wa Esawu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elifaazi mutabani wa Esawu yalina Timuna omuzaana, eyamuzaalira Amaleki. Abo be baana abaasibuka mu Ada muka Esawu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Timuna yali muzaana wa Erifaazi omwana wa Esawu; n'azaalira Erifaazi Amaleki; abo be baana ba Ada omukazi wa Esawu.

Recommended Reading