Genesis 36:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be batabani ba Olibama muwala wa Ana muzzukulu wa Zibewoni muka Ezawu, be yamuzaalira: Yewusi, Yalamu ne Kora.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaana ba Okolibama omwana wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, mukazi wa Esawu, be bano: Yewusi, Yalamu, ne Koola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be baana Oholibama muwala wa Ana, omwana wa Zibiyoni be yazaalira Esawu, bba: Yewusi, ne Yalamu ne Koora.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Okolibama omwana wa Ana, omwana wa Zibyoni, omukazi wa Esawu: n'azaalira Esawu Yewusi, ne Yalamu, ne Koola.